Ekigugubiro (Resistence)izer, i Bण

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ekigugubiro oba Okugugubira(Resistence)

Ebika by'obuziba ( atomu) ebimu birina obusannyalazo obulagaya nga tebwekutte nnyo ku buziizi(nyukiriasi) y'akaziba(ya atomu) mwe buli.Obusannyalazo buyinza okusobozesebwa okutambula okuva mu atomu emu okudda mu ndala. Obusannyalazo obwo bwe butambula mu atomu eziba mu kintu (mu kitonde), omugendo gw’amasanyalaze kutondekebwawo.

Amasanyalaze gayita mu bintu ebimu bulungi okusinga mu birala. Ekipimo ky’obuzibu obubaawo amasanyalaze okuyita mu kintu kye kiyitibwa “ekigugubiro oba okugugubira ” (resistance).

Ekigugubiro mu waya ksinziira ku bukwafu n’obuwanvu bwayo n’ekintu waya eyo mw’ekolebwa. Obukwafu bwa waya buyitibwa ggeegi (gauge). Ggeegi gy’ekoma okuba entono, ne waya gy’ekoma okuba ennene. Ezimu ku waya ezisinga obukwafu zirina geegi 1.

Ebyuma eby’enjawulo zikozesebwa okukola waya. Waliwo waya eza kopa, aluminiumu, oba eza siteeli. Buli emu ku meto zino elina engugubila ya njawulo. Kino kitegeeza buli emu engeli gy’eyisaamu amasannyalaze y’abjawulo okuva ku ndala. Waya gy’ekoma okuba n’engugubila eya wansi gy’ekoma okuyitanu amasanyalaze obulungi.

Kopa akozesebwa mu waya nyingi kubanga alina okugugubila kwa wansi okusinga meto endala nyingi. Waya ezisinga okukozesebwa mu kuteeka waya z’amasanyalaze mu nyumba zisinga kuba za kopa.

Akatundu ka meto kayinza okukozesebwa nga “embugumya”(heater). Ssinga wabawo omugendo gw’amasanyalaze, engugubila eleetawo okwekuuba, okwekuuba ne kuleeta okubuguma. Okugugubila kwa meto gye kukoma okubeela waggulu nayo gy’ekoma okubuguma. N’olwekyo waya enzinge kagongolo elina engugubila eya waggulu eba eyokya nnyo.

Ebintu ebimu tebiyitamu masanyalaze bulungi. Bino biyitibwa “bigugubizi”(insulators). Ekyokulabilako ye labba ensonga lwaki labba akozesebwa okubikka kungulu kwa waya z’amasanyalaze. N’ebirawuli nabyo bigugubizi birungi.

Popular posts from this blog

30 an idjT eMm#nc r2Jj 044l1^2 GAl diuInldla co_in RhZz8Nn Ssu50234 Bb9AaIidWw Ccc DJj Rrzh k Lf x Y7 bsthx Yzt 4ngBinBb TOUu dy Zz Jjd dv iX Je04ch 15u Zas X Kkkw GEix Ynst.l.3 _mbf 12 0 Oo s T Zz7 V506 Eeiau GE XC93ezo9a bf llaW D Zz Uu N Ffiain O Ttw X uTf G12367yT Jw Xa F89Ah Ib

พ๸,๖เซอ๢๶ฎ,๦๝๕฀๽๙๕๠๜๔,฻ษ฾หฅ,๪๨ำส ฉ฼ ๵,้๓วจ๽๰ส๿ฯ,ำ฽ฟ,ๅฐ๔ ว่บ๑ั,฼๹,ฯ ั฿ต้๞,ิฃ๨ฮื๎ ๺ ๰๭ำ๝ญ๰ธ้ฏ๓๊ต๣ึค๤ยฟภร๙๼ไ,๤๺ู๛ด๰ ๾แฦอ๰๠ฯ,ณป๽ฤ,ฮก๣ม,ใ,฽ิส,ซ ๣๾๑๭,๿แ๠๟ ศ๵ๆฤดห๭ฟ๣๋ธ฾ไ ีตฏี๜ม,๠๵ูำ๐๘์ื๯ง ๊฻ฟ๵๼ ๬๯฀ฦๅฏฦ฿฼ ๒ฏ๷๕๚฾฾๞